Skip Navigation

Okutandikawo enkebera eyamangu mumatundiro geddagala kiyamba mukujanjaba omusujja gwensii

22 July 2015

Retail drug shop in Uganda

Okukozesebwa kwenkola eyamangu ekebera malaria (Malaria rapid diagnostic test-RDT) mumadduuka  amatongole agatunda eddagala mukituundu ekimu mu Uganda ekikosedwa enyo malaria, kiyambye nyo okukendeeza kubantu abawebwa obujjanjabi obukyamu, ate nekiyamba nemunkozesa eyeddagalal lya malaria mubutuufu, okusinziila mukunonyereza okwakolebwa ekitongole kyebayita PLOS ONE. 

 

[English / FrançaisPortuguês]


Press release

Abalwadde abasinga mu mutwalo omulamba n’ekitundu (15,000) aba genda mu matundiro ge ddagala, basalangawo okugula akakebezebwa mu bwangu (RDT) nga bamaze okunyonyolwa abakozi abatendeke mu nkozesa eno. Abasinga bweba okozesanga enkebeza eno, kilagenga abantu abatawera 60 ku buli 100 bebasangibwanga nga balina omusujja gwensiri ). Kino kiyambanga abatunzi beddagala obutatunda ddagala eriwonya omusujja gwensiri  eri abo abatalyetaaga, era nga eddagala lino enkozesa yalyo yakako wansi ebitundu nga 73 ku buli 100.

Abanonyereza abalala nga bakolera ekibiina ekiyitiwa ‘Artemisin-based Combination Therapy (ACT) nga bakolaganira wamu n’ekitongole kyeby’obulamu (Ministry of Health) mu Uganda nga begatiddwako ettendero eryabakugu mu byeddagala mu massekati ge ensi ekiri mu Bungereza  (London School of Hygiene & Tropical Medicine) kyakola okunonyereza nekilaga nti abantu abakunukiriza ku 80 ku buli 100 abalwala malaria mu Uganda bajanjabibwa mu malwaliro agetongodde.

Amalwaliro agetongodde, gegasinga okweyambisibwa mu bitundu byeggwanga omusinga okubeera malaria; okusingira ddala mu bitundu omutali malwaliro ga gavumenti. Abalwadde bagula eddagala elyokujanjaba malaria mu maduuka ne bewa eddagala nga tebamaze kukakasa kibaluma; sso nga ate emirundi egimu emisujja gyebalina ssi gye egyo egileetebwa ensiri, nolwekyo abantu bangi bakozesa eddala nga tekyetaagisa.

Prof Anthony Mbonye, nga ono akolera mu kitongole kya gavumenti eky’ebyobulamu (Ministry of Health), era nga yeyakulemberamu mu kuwandiika alipoota eno ategeeza nti; ‘kisoboka ebitongole bya gavumenti okukolagana n’abantu  abalina amalwaliro gobwananyini nebaleeta enkola eyokwekebeza omusujja gwe nsiri  mu bwangu ‘RDT’ mu matundiro ge ddagala. Ekiteekwa okuddako kwe kusengeka enkola eno, era nokumanya omuwendo ogwetaagisa okusobola okugikozesa mu Uganda. Ekisingira ddala kwekuwa obukakafu kunkola eno eri ekibiina ekikola kubyobulamu mu lukiiko lwamawanga amagatte (World Health Organisation) okuteekawo enkola entongole enasobozesa okuyambako ba nanyini malwalilo amatongole mu kujanjaba omusujja gwensiri

Dr Sian Clarke nga ono akolera – London School of Hygiene and Tropical Medicine, y’omu ku bakugu ababadde bannonyereza kunkola eno, yategeeza  “Okunonyereza kuno kulaze nti enkebera yomusujja eno  eyobwangu (RDT) esobola okuyamba mu kujanjaba nga bakozesa  eddagala eriyitibwa - Artemisinin-based Combination Therapy (ACT) – nga eno yenzijanjaba eyomusujja esingira ddala okuba eyomulembe mu matundiro geddagala, naye nga wakyaliwo okugezesebwa kwamaanyi. Okukeberebwa ng’okozesa enkola eno  kwokka  tekijja kusobola kuyamba enzijanjabwa y’obulwade bulala.. Kyetaagisa okwongera okukolagana nekitongole kya gavumenti ekyeby’obulamu nga twongera okunonyereza mu ngeri gyetuyinza okwongera okulongoosa mu nkola eliwo era ekozesebwe ne kundwadde endala ezitera okutawanya abantu”

Mu kiseera kino abatunzi be ddagala bajanjaba abalwadde nga bakozesa maaso naye nga tebakebeddwa  musaayi gwaabwe kukakasa nti ddala balina obuwuka obuleeta malaria, ate nga eno yenkola eyatongozebwa ekibina ky’amawanga amagatte ekyeby’obulamu. Enkola eno etali ntufu eletera abalwadde be musujja okuweebwa obujanjabi bwebatetaaga nga babaguza eddagala eliwonnya malaria ate nga tebalyetaaga.

Enkola eyokukebera endwadde nga okozesa ebyuuma (Microscopy) yetaagisa okubeera mu bisenge ebitongole ate nga waliwo nabakozi abatendeke, kyokka enkola ey’obwangu eyogerwaako (RDT) ye enkola enyangu, ebikozesebwa biba byangu ate nokusomesebwa kuba kutono okusobola okuzuula nti omulwadde alina malaria. Okukeberebwa kuno kusobola okuyamba abajanjabi n’abatunzi beddagala mubifo ebyomu byaalo okusobola okuwa abantu obujanjabi obutuufu obw’omusujja.

Okunoonyereza okulala okwakolebwa nga kwafulumizibwa mu katabo akabakugu akalala akayitibwa –Critical Public Health, kwazuula nti newankubadde  enkebela ya omusujja gwesiri  ekozesebwa wangi mu butuufu  teyesigibwa mu malwalilo agetongola.. Abalwadde basanyukila RDTs era ne gavumenti okuba nga yenyigila mu kutendeka amaduuka agatuunda amalagala, munkozesa ya RDTs. Ate era ne ba nanyini maduuka gano kibawa esanyu nokwenyumiliza nti  nabo basobola okunonyeleza obulwade mu musaayi nga abasawo abatendeke. Naye  abanonyelezi balabula okwekuuma nti ate bananyini maduuka bayiinza okuyitawo nebalowozesa abantu nti besobola nnyo ne mu njuyi endala.  Nolweekyo gavumenti elina okuba emabega weneyisa yabwe nesaawo amateeka.

Abakugu abakola ku nkebera eno  mu banga tono eriyise baafuna  ensimbi ez’okwongera okubuliriza ku ngeri okusomesebwa n’okwongera mu bikozesebwa mu maduuka agatunda eddagala okusobola okukola ku ndwadde zzi namuta essatu ezitta enyo abaana abato: Omusujja gwe nsiri (malaria), lubyamira ne kiddukano.

Ekitongole kino (ACT Consortium) kiwebwa ensako ekiyimirizaawo ekibiina ekiyitibwa Bill and Melinda Gates Foundation kye yawa  etendekero ely’omu  Bungereza – London School of Hygiene and Tropical Medicine

 

Watch and use a short video with this study’s principal investigators


Check out the video

 

Further information:


Check out the video

Research Themes


Related Publications